Amawulire
Abaatolose ku ssomero okusoberera abawala, babakubye amasasi
Bya Ritah Kemigisa
Abayizi babiri ku ssomero lya St Joseph’s college Layibi mu kibuga kye Gulu, bakubiddwa masasai agabasse, bwebaadde batolose ku ssomero.
Abagenzi bababadde mu kibinja kyabayii 8 aba S4, abatolose ku ssomero nebagenda ku ssomero lyabawala Bright Valley Girls’ school.
Bino byabaddewo mu budde bwekiro, nga babadde bagenze kusoberera bawala, wabula abakuumi ku ssomero lino nebabakuba amasasi
Abagenzi kuliko Brian Okello ne Emmanuel Okeny.
Okusinziira ku muddumizi wa poliisi e Gulu Dickens Bindeeba, waliwo ne munaabwe eyabuuse nebiwundu ebyamanayi ku ssomero lya Lacor Hospital ngabalala 7 bakwatiddwa, babagaidde ku CPS e Gulu.
Bindeeba agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.