Amawulire

Abaana basobola okukumibwa ku masomero okusinga awaka

Abaana basobola okukumibwa ku masomero okusinga awaka

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abazadde basabiddwa okuwaayo obudde obumala okutekateeka abaana, nga gwemulundi gwabwe okusoma.

Omulanga guno gukubiddwa Dr. Sabrina Bakeera-Kitaka, omusawo wabaana ateera omusomesa ttendekero lye Makerere, mu kiseera ngamasomero gaguddewo.

Dr Sabrina agambye nti abaana abato bangi tebamanyi bigenda mu maaso, kalenga betaaga okutekateeka mu bwongo nga tebanatwalibwa ku masomero.

Agambye nti era betaaga nokukumibwa ennyo bwekituuka ku kussa mu nkola abeiragiro byokwetangira obulwadde.

Kinajjukirwa nti abakugu bawabula nti abaana abatanaweza myaka 6, tebatekeddwa kwambala mask.

Yye munnabyanjigiriza Marrie Gorreti Nakabugo, agambye nti abaana bajja kusobola okukumibwa mu masomero okuva eri akawuka ka ssenyiga omukambwe nebikolwa ebirala ebyobukambwe nokusinga nga bwegubadde nga bali waka.

Ono nga ye ssenkulu wekitongole kya UWEZO ayanirizza ekyokuggulawo amasomero nagamba nti tekyeganika abaana babaddenga batayayaana eno neerinemu bifo gyababadde bayinza okulwalira atenga mu ssomero basobola okukumibwa awamu.

Nakabugo bino abayogeredde ku Morning @ NTV ngalaze nobwetaavu okubudabuda abaana mu bwongo kubanga ebizibu bya ssenyiga omukambwe bingi ebibakosezza ebbanga amasomero lyegamaze nga maggale.

Ayongedde okusaba gavumenti ekirowozeeko nti essomero lyelisaanye okuseabyo okuggalwa ateera lyerisaanye okukanga okulowozebwako okuggula.