Amawulire

Abaana amakumi 30 bakwatiddwa nga tebasoma bakungula bikajjo

Ivan Ssenabulya

October 26th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Mu district ye Jinja agavaayo galaga nga abaana 30 bwebakwatidwa okuva mu gombolola ye Buyengo, nga bano  ogubavunanibwa gwakugenda  mumasamba gabikajjo  okukola  kyoka nga kadde kakusoma.

Bano abaana bakwatidwa nga bakedde kugenda kutema bikajjo, era nga kino ekikwekweto kikulembedwamu akulira police yeeno Hoseph Ojuka.

Yye omwami w’egombolola eno Josephine Balinaine agambye nti okuzukuka bamaze kukizuula nga abaana abasoma bakendedde.