Amawulire
Abaana abawala abaazalako baakudda mu masomero.
Bya Ben Jumbe.
Government etegeezeza nga bwemaze okubaga enkola egenda okugoberera mukuzza abaana abawala abaazalako mu masomero
Kino ekyama kibikuddwa minisita omubeezi akola ku by’enjigiriza eby’awansi Rosemary Sseninde akawungezi akayise bweyabadde atongoza alipoota ekwata ku ngeri abaana ba Uganda gyebaliisibwamu akakanja.
Ono agamba nti abaana abawala bangi bawanduka mu masomero nga bafunye embuto nebatafuna mukisa kudda mu masomero, wabula kino kati kigenda kukoma.