Amawulire

Abaana abasoma eby’emikono bagudde oluzungu n’okubala.

Ivan Ssenabulya

January 30th, 2018

No comments

By Damali Mukhaye

 

Olunaku olwaleero ministry ekola ku by’enjigiriza lw’efulumizza ebyava mu bibuuzo ebyakolebwa abaana abasoma ebyamikono, nga bino biraze nga abaana bano bwebaage enyo okubala noluzungu, kale nga kino kyabalemesa okuyita obulungi okutwaliza awamu.

Bwabadde afulumya ebibuuzi  , Onesmus Oyesigye nga no yakulira ekibiina ekya Uganda business and technical examination board ekikola ogw’okugolola ebibuuzo bino , agambye nti abaana abakola ebibuuzo bino kumutendera ogwa uganda polytechnics certificate tebaakoze kimala, kale nga y’ensinga lwaki basazeewo okuwandiika abasomesa abalungi  nadala mu kubala, ko n’oluzungu.

Ono agamba nti kubaana  4,283 abatula ebibuuzo bino   3,425 (80%) baayise, songa   858(20%) bagudde

Wabula ono agamba nti mukubala okwangu abaana abawala baakoze bulungi okukira kubanaabwe