Amawulire

Abaana abali mu nkambi bakyasoma bubi ddala.

Ivan Ssenabulya

June 20th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.

Ekitongole ekitera okunonyereza ku by’enjigiriiza ekya UWEZO kiriko okunonyereza kwekikoze mu nkambi z’ababundabunda nekizuLa nga  abaana abali mu P.3 nga  tebali mu nkambi, ko n’abali mu p.2 nga bali mu nkambi tebasobola kusoma wadde okuwandiika.

Twogedeko n’akulira Uwezo  mu uganda  Dr Mary Goretti Nakabugo, nagamba nti nga ojjeko okubagerageranya n’abalala, abaana abali mu nkambi zino bagezaako okusoma obulungi.

Ono agambye nti okunonyereza kwebaakoze kulaga nti mu Adjumani,  abaana bonna abali mu nkambi eno webatuukira mu P.7  nga basoboala okusoma n’okuwandiika, songa ebweru w’enkambi abaana webatuukira mu P7 nga ebitundu 87%  bokka bebayinza okukola kino.

Kati Nakabugo agamba nti government egwana okutwala akadde yetegereze ekiviirako abaana okulemwa okusoma obulungi, kino kiyambe okubbulula eby’enfuna bye gwanga.