Amawulire

Abaana 2 bagudde mu kidiba

Ali Mivule

January 16th, 2015

No comments

 

Ekidiba

Abaana 2  bawonye okufiira mu kidiba ky’amazzi oluvanyuma lw’okugwamu nga basena amazzi.

Susan Nambusi 8 ne  Bredah Nalugo7 bawala ba  Ronald Kazibwe omutuuze ku kyaalo  Kibulala  mu disitulikiti ye Ssembabule be banyuluddwaare nga kati bali bubi mu ddwaliro lya  Kinoni health e Lwengo.

Susan Nambusi  yeyasoose okugwa mu kidiba kino olwo mutowe  Nalugo bweyagezezzaako okumuyamba naye n’agwamu.

Ekilungi muto waabwe  Anita Nakazibwe y’abadde kumpi n’adduka ewaka n’ayita bazadde baabwe naye baasanze omulalo Posiano Katogo abaayambye okubayunula mu kidiba kino wabula nga balina obuzibu mu kussa.

.Ssentebe w’ekyaalo kino  Tadeo Matovu agamba balina ekizibu ky’ebbula ly’amazzi mu kitundu kyaabwe nga kati abatuuze ebidiba babigabana na nsolo oluvanyuma lwa nayikonto ebbiri zebaalina okufa.

Ono asabye gavumenti okubasimirayo nayikonto endala okumalawo eky’abantu okugabana ebidiba n’abantu.