Amawulire

Abaana 2 bafiridde mu muliro e Namisindwa

Abaana 2 bafiridde mu muliro e Namisindwa

Ivan Ssenabulya

October 7th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Bumuleki mu gombolola ye Bubutu mu disitulikiti ye Namisindwa, abaana babiri bwebasirikidde mu muliro ogukutte ennyumba.

Enjega eno ebaddewo mu kiro ekikesezza olwaleero, ngabagenzi ye Wadulu Brighton abadde aweza emyaka 6 ne Mukite Blessing owemyaka 3 nga bombi baana ba Robert Wamaluku omutuuze ku kuyalo kino.

Abaana bafiridde mu nnyumba ya jajja waabwe Nandutu Mary ngabadde yabaleseemu bokka.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon, Rogers Taitika tekinamanyika lwaki jajja abadde yabaleseewo.

Taitika agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso ku njega eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *