Amawulire

Abaalisibwa akakanja e Nalufeenya baagala bwenkanya.

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.

Abantu abagamba nti batulugunyizibwa nga baggaliddwa e Nalufenya, nga bakulembedwamu eyali aduumira police ye buyende  Muhamad Kirumira ko n’abalala 2 okuli  Maj Musisi Galabuzi ne  Grace Bukenya  bagenze mu  kakiiko akalera edembe ly’obuntu nga bagamba nti baagala kawulire ensonga zaabwe

Bano bagamba nti baamala akadde e Nalufenya mu kuliisibwa akakanja okutagambika, kyoka bwebaatebwa emisango gyabwe kooti tegikolangako, kale nga basaba bwenkanya.

Kati bano bagamba nti beetaga ensonga zaabwe zituuke mu kooti, era bafune obwenkanya

Kati bano akulira akikiiko kano Meddy Kaggwa abasabye okuleeta okwemulunya kwabwe mu butongole , ensinga zitambule.