Amawulire

Abaalimba nti bamulekwa bajiddwa ku ntekateeka y’okuwererwa gavumenti

Abaalimba nti bamulekwa bajiddwa ku ntekateeka y’okuwererwa gavumenti

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Gavumenti eriko abayizi 47 bejje mu ntekateeka yokuwererwa ku bbanja eya loan schem, bwebazudde nti abayizi bano baalimba nti bazadde baabwe baafa.

Bano bebamu ku bayizi 1,113 ababadde mu ntekateeka eyomwaka gwebyensoma 2020/21.

Bano baalimba mu buwandiike nti ba mulekwa songa kyazuuse nti bazadde babwe gyebali balamu.

Abalala balaga nga bwebaliko obulemu nabamu nebajingirira empapula zobuyigirize.

Entekateeka eno okusinga etunuliira abayizi abenkizo nga tebseobola mu byensimbi, abaliko obulemu nga nabava mu mambuka gegwanga batunuliirwa.

Akulira ebyamwulire ku kitongole kya Higher Education Financing Board Bob Nuwagira agambye nti 32 ku bayizi 47 balimba nti abazadde baafa, abayizi 10 balimba nti balina obulemu.

Kino kitegeeza nti bajiddwa mu ntekateeka ya gavumenti eno, batekeddwa kwesasulira okusoma.