Amawulire
Abaali abakozi ku UCU baloopye olw’okubagoba mu bukyamu
Bya Ivan Ssenabulya
Abaali abakozi ku ttendekero lya Uganda Christian University baddukidde ku kitebbe kya munisipaali ye Mukono, okuloopa engeri gyebagobwa ku mirmu gyebagamba nti yali emenya amateeka.
Bano era bawakanya entekateeka eyobuwaze, eya University Benefit Saving Scheme gyebayitangamu okutereka ssente, nga babasubizza nti zakubawebwa nga bagenze okuva ku mulimu.
Bano abatayagadde kubatukiriza mnnya, bagamba nti muno mwetobekamu obufere, kubanga okuva mu mwaka gwa 2016, ssente zino tezabaweebwa.
Bano batusizza okwemulugunya kwabwe eri, akulira abakozi ku munisipaali ye Mukono Abubaker Wasajja nabasubiza nti agenda kulondoola ensonga eno.
Agambye nti awandiise ebbaluwa eri baddukanya ettendekero lya UCU, bankule ku kwemulugunya kuno.
Bbo abaddukanya ettendekero, lino bagaanye okwanukula ku ku nsonga zino.