Amawulire

Abaakosebwa amataba e Kisoro baddukiriddwa

Abaakosebwa amataba e Kisoro baddukiriddwa

Ivan Ssenabulya

May 6th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Abantu 350 abakoseddwa amataba mu Disitulikiti y’e Kisoro bafunye obuyambi okuva mu kibiina kya Uganda Red Cross Society.

Abantu abayambibwa beebo abava mu maka agasunsuddwa agaasinga okukosebwa amataba n’okubumbulukuka kw’ettaka ennaku 3 eziyise.

Disitulikiti y’e Kisoro mu wiiki eziyise efunye enkuba esukkulumye kuya bulijjo eyavuddeko amataba amangi n’okubumbulukuka kw’ettaka, ekyaviiriddeko abantu 8 okufa, ate abalala 6 ne balumizibwa nnyo.

Bwabadde akubiriza omulimu gw’okugaba obuyambi buno, omubaka wa Palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Kisoro era nga Minisita ow’ensonga z’abavubuka n’abaana Sarah Mateke ategeezezza nti ebitundu ebikoseddwa mulimu ebyalo okuli Bunyora ne Kimbuba mu kigo ky’e Chibumba, mu town council y’e Chahafi.