Amawulire

Abaakosebwa amataba e Kasese balajanidde Gavt

Abaakosebwa amataba e Kasese balajanidde Gavt

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2021

No comments

Bya Joel Kaguta,

Abakosebwa amataba e kasese omwaka oguwedde ne babudamizibwa mu nkambi ye Muhokya abasoba mu 1400 balajanidde gavt ku mbeera embi mwe bali naddala obukyafu mu nkambi

Bano Bagala gavt eyanguyirizeko enteekateeka eyokubasengula okuva mu nkambi eno nga tebanafuna ndwadde eziva ku buligo.

Omukyala Gevina Kabugho, owabaana 4 agambye nti embeera yebyobulamu ku nkambi eo yelalikiriza nga betaaga okusengulwa mu bwangu.

Rehema Aryema, akola nga omuwandiisi ku nkambi naye akakasiza okwemulugunya kwa babudami.

Abatuuze abemulungunya bebamu ku bantu omutwalo omulamba abakosebwa amataba e Kasese omugga Mubuku, Nyamwamba, Thako ne Nyamughasan bwegyayabika ne gikola amataba.

Omuk weggwanga Museveni, bweyakyalako e Kasese mu mwezi gwo 6 yabasuubiza okubasengula okuva nkambi eno bagende mu bifo webayinza okubebera obulungi wabula kino kyakoma mu bigambo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *