Amawulire

Abaaganye okwewandiisa babalumbye waka

Ali Mivule

September 5th, 2014

No comments

enumerators

Nga enkuba ekyafudemba, gavumenti esazeewo okubala abo bonna abeesisigaliza ku mpaka.

Amakya galeero abakulira ekitongole ky’ebyemiwendo mu ggwanga bazinzeeko Ntinda nga bawerekerako ababala abantu oluvanyuma lw’abananyini maka 3 okugaana okubalibwa.

Bano babadde bagaddewo geeti zaabwe nga era okusinga bagwiira.

Omwogezi w’ekitongole kino  Godfrey Nabongo agamba kati baakutambula n’ababala abantu okukola kwabo ab’emputtu.

Ate yyo Poliisi ye  Mbarara eriko abantu 3 bekutte nga balina enzikiriza yaabwe ebagaana okubalibwa.

Abasatu bano kuliko  Annet Nyangoma 37 n’omwanawe  , Jeniva Kamaheiso 35  nga bonna batuuze ku kyaalo  Nsiika  mu disitulikiti ye Mbarara.

Okusinziira ku kalabalaba w’okubala abantu mu kitundu kino  Vincent Nuwagira bano beebamu ku nzikiriza ya injiri nga bagaana abantu okubalibwa n’okwewandiisa okufuna endagha muntyu wamu n’enteekateeka za gavumenti endala.

Yye aduumira poliisi ye Mbarara Dickens Bindeeba agamba bano bakuvunibwa mu mbuga z’amateeka lwa kulwanyisa nteekateeka za gavumenti.