Amawulire

Aba UWOPA bakukulumidde palamenti olwamateeka gebagala okusuula mu kasero

Aba UWOPA bakukulumidde palamenti olwamateeka gebagala okusuula mu kasero

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Entekateeka y’okuzza amateeka agaali gayisibwa palamenti eyomulundi ogwe 10, abamu bagamba nti egenda kuwemmmenta obuwanana bwensimbi era kyabamzeemu amaanyi.

Bino byogeddwa omuwandiisi wekibiina ekigatta ababaka ba palamenti abakyala ekya Uganda Women Parliamentary Association, UWOPA Lucy Akello oluvanyuma lwa sipiika Jacob Oulanya okulangirirra nti amateeka gebayisa mu bubage naye negatatekebwako mukono gagenda kudda.

Ono ayogedde ku mateeka okuli eryobusika oba succession bill nerirwanyisa okukabasanya erya sexual and offenses bill nti batambula olugendo okubaako webatuuka okugayisa, kalenga okuddayo emabeg kinaaba kimalamu amaanyi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *