Amawulire

Aba UPC bawagidde okusazibwamu kwa kontulakita ya ba-china mu kuzimba SGR

Aba UPC bawagidde okusazibwamu kwa kontulakita ya ba-china mu kuzimba SGR

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ky’eby’obufuzi ki Uganda People’s Congress kiwagidde okusalawo kwa President Museveni, bweyasazizzaamu endagaano eyali yakolebwa ne Kampuni y’aba China ey’okuzimba oluguudo lwe’ggaali y’omukka.

Endagaanao eno ebadde yakumalawo obuwumbi bwa Uganda 2 n’obukadde 200.

Sabiiti ewedde, emikutu gy’amawulire gyategeeza nti Gavumenti yali esazizzaamu endagaano gyeyali yakola ne kampuni ya China Harbour Engineering Company okuzimba ekitundu ekisooka oluvanyuma lw’emyaka okwekulngula nga tewali kigenda mu maaso.

Kati omwogezi wa UPC Sharon Oyat, agamba nti wadde nga endagaano eno yawereddwa kampuni ya Buturuki, wajja kwetagisaawo obweerufu ngetekebwa mu nkola.

Ku lunaku lw’okubiri lwa sabiiti eno, ne banna kibiina ki Democratic Party basaba gavumenti okuvaayo enyonyole kiki ekyaavirako okuzimbibwa kw’oluguudo luno obutagenda mu maaso.

Oluguudo olwogerwako, lwakuyunga ebitundu bya Uganda ku mawanga ag’omulilaano kuli Kenya, Rwanda, DRC, South Sudan.