Amawulire

Aba UPC bagamba NRM yabaliddemu olukwe mu kulondwa kwa EALA

Aba UPC bagamba NRM yabaliddemu olukwe mu kulondwa kwa EALA

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya ekya Uganda People’s Congress kyennyamivu olw’ekikolwa ky’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM obutawagira muntu waabwe mu kulonda kwa EALA okwakaggwa.

UPC yali esimbyewo omuwandiisi w’ekibiina kyabwe Fred Ebil wabula teyasobodde kuyitamu kwegatta ku bammemba 9 abagenda okukiikirira eggwanga mu palamenti ya East Africa.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala, omuwabuzi ku byámateeka mu kibiina kya UPC, Daniel Enap ne mmemba wa UPC atuula ku kakiiko ka National Council, Higenyi Kemba, bagambye nti NRM yabalidemu olukwe, songa abaali bakkiriziganya ababaka ba NRM bawagire omuntu wabwe ayitemu, ekitakolebwa.

Enap ategeezezza nti ekikolwa kya NRM okulemesa omuntu wabwe kireeseewo enjawukana wakati w’enkolagana y’ebibiina byombi.

Bano bategezeza nti olw’ebyo ebyabaddewo UPC egenda kutandika entekateeka esimbewo nómuntu avuganya aba NRM kuntebe eyobukulembeze mu mu kalulu ka 2026.