Amawulire

Aba UNYPA batongoza empaka za Y plus beauty pageant ezómulundi ogwo 9

Aba UNYPA batongoza empaka za Y plus beauty pageant ezómulundi ogwo 9

Ivan Ssenabulya

September 30th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekirwanirira eddembe lya bavubuka abawangala na kawuka ka sirimu mu ggwanga ekya Uganda Network of Young People Living with HIV/AIDS (UNYPA) leero kitongoza empaka za Y plus Beauty Pageant ezomulundi ogwo 9 nómulanga eri abavubuka obutakkiriza nsonga ya kuba na kawuka ka sirimu kugotanya biseera byabwe eby’omumaaso.

Kawefube ono agenderedde kulwanyisa muzze ogw’okusosola abantu abawangala na kawuka mu ggwanga nokutema empenda ezokulwanyisamu embeera zonna eziyinza okulemesa abavubuka abalina akawuka okweyagalira mu bulamu

Mu Uganda, okunyoomebwa okwekuusa ku siriimu kubadde kukwatagana n’okunyigirizibwa mu nneewulira, okukendeera kw’okunywerera ku ddagala eriweweeza ku kawuka ka siriimu n’okukendeeza ku mikisa gyabalina akawuka ka sirimu okwatula nti bakalina.

Mukwogerako eri bannamawulire, Ruth Awori akulira ekitongole kya UNYPA agambye nti abavubuka abalina akawuka ka siriimu beetegefu okufuna omukisa okwenyigira mu nteekateeka ezibakolera.

Cue Awori launch Lug

Ate ye abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno omubaka wa Amerika mu Uganda Natalie Brown alaze obweraliikirivu olw’omuwendo gw’abakwatibwa obulwadde okweyongera mu bavubuka.

Wabula alaze obweyamo okukolagana ne gavumenti okumalawo akawuka ka siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira.