Amawulire

Aba UHRC basabye bongolwe ensimbi

Aba UHRC basabye bongolwe ensimbi

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Rita Kemigisa,

Akakiiko akalwanirira eddembe lyobuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission kasabye gavumenti okwongerwa kunsimbi basobole okwanguyirwa nga bakola egyabwe.

Bino byogeddwa ssentebe wa kakiiko Mariam Wangadya bwabadde awaayo alipoota yabwe ekwata ku ddembe lyobuntu eyo mwaka 2021 eri amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa.

Ono agambye nti bulijjo bafuna ensimbi ntono okusinzira ku zebaba basabye mu mbalirira ye ggwanga.

Ono awadde ekyokulabirako nti mu mwaka gwebyensimbi gwe tukomekereza basaba obuwumbi bwensimbi 72. 2 wabula babawa 20.8 bwokka songa ne mu mwaka gwe byensimbi ogujja basabye 78.9 naye babawadde 20.6 nga zino zikola ebitundu 26% kuzebasaba.

Amyuka sipiika Tayebwa mu kumwanukula ategezeza nga gavt mu mbalirira egenda okusomwa olunaku lwenkya bweyatadde enyo essira ku pulogulamu ya parish development model.

Mungeri yemu Wangadya alabudde abakozesa emikutu egyómutimbagano mungeri etali nnungi

Ate bino abyogeredde ku mukolo ogwokutongoza alipoota ekwata ku ddembe lyobuntu mu ggwanga eya 2021 eyomulundi ogwa 24th mu kampala

Wangadya agambye nti enkola eyokudda ku mutimbagano ne bakolokota abantu si nnungi erina okukomekerezebwa.

Ono agambye nti buli muntu alina eddembe okweyagalira munsi eno nga tamalidwako ddembe lye mungeri emu oba endala.