Amawulire

Aba PPP bagenda mu kkooti kunsonga zókulonda kwa EALA

Aba PPP bagenda mu kkooti kunsonga zókulonda kwa EALA

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu, 

Ekibiina kya People’s Progressive Party kigamba kigenda mu kkooti okuwakanya ekya palamenti okuba nobuyinza obutegeka okulonda kwa balina okukikirira Uganda mu palamenti ya EALA songa mungeri yemu era yelonda abagendayo.

Bano bavumirira ebikolwa eby’okulya enguzi mu nteekateeka z’okulonda kw’olukiiko lw’ababaka ba Palamenti mu East Africa ezigenda mu maaso mu Palamenti.

Okusinziira ku akola nga Ssentebe w’ekibiina Saddam Gayira batunulidde ebigenda mu maaso mu kwetegekera okulonda kuno byewunyisa.

Ekibiina era kisabye Palamenti ya Uganda okukopa palamenti za mawanga amalala okulaba nga okulonda okw’eddembe era okw’obwenkanya kutegekebwa mu myaka emirala egijja.