Amawulire
Aba pipo ppawa balumirizza poliisi okubatulugunya
Bya Ivan Ssenabulya
Ekisinde kya people power kitadde poliisi ku nninga, okunyonyola lwaki abwagizi baabwe bakubibwa amasasi, nokubatulugunya.
Bwabadde ayogera eri banamwulire batuuzizza e Kamokya omwogezi wekisnde kino Joel Ssenyonyi agambye nti bangi babakubye masasi, okubakwata, okubatulugunya nabamu nebabuzibwawo, awatabadde kunyonyola lwaki.
Kati bagamba nti poliisi erina okukonyola ddala ani mu bebyokwerinda, ali emabega webikolwa bino.
Kati poliisi ebadde tenayanukula ku bino, byebabalumiriza.