Amawulire
Aba pipo ppawa babakutte
Bya Sadat Mbogo
Police mu district ey’e Gomba eriko abawagizi b’ekisinde ki People Power bekutte, ekikulemberwa omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi amanyiddwanga Bobi Wine, ku misango gy’okutegeka olukungaana lw’ebyobufuzi olumenya amateeka.
Addumira police mu bitundu bino Alfonse Musana agambye abakwate babadde bakulembeddwamu Godfrey Ssaazi, nga babadde olukungaana balukubye mu kabuga k’e Kanoni.
Okukwatibwa kivudde ku biragiro bya DISO Godfrey Tashobya okutegeeza, nga bano bwabadde bategese okukyaya omukulembeze w’eggwanga nokumowgerera amafukuule.