Amawulire

Aba NUP bakuwagira kandidenti wa ANT mu kulonda kwe Serere

Aba NUP bakuwagira kandidenti wa ANT mu kulonda kwe Serere

Ivan Ssenabulya

February 7th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ekibiina kyébyóbufuzi ekya National Unity Platform (NUP) kikkirizza okuwagira kandidenti w’ekibiina kya Alliance for National Transformation, ekikulemberwa Maj. Gen. Mugisha Muntu, Alice Alaso mu kuddamu okulonda omubaka wa palamenti akikirira abé Serere County.

Bino bikakasiddwa omwogezi w’ekibiina kya NUP, Joel Ssenyonyi ne Lina Zedriga ssentebe w’ekibiina avunaanyizibwa ku bukiikakkono bwa Uganda mu lukungana lwábannamawulire.

Bagamba nti okusalawo kuno kwesigamiziddwa ku bwetaavu bw’okugatta amaanyi ku lw’enkyukakyuka.

Joel Obore ne Jerry Okello bombi abaali abesimbyewo ku tikiti ya NUP mu kulonda okuwedde bakakasizza nga bwebavudde mu lwokaano era basabye abalonzi baabwe okuwagira Alice Alaso.

Wiiki ewedde ekibiina kya FDC kyagaana okusaba kwé Kibiina kya ANT okulekera Alice Alaso akikirire aboludda oluvuganya mu kulonda kuno baleme kutta bululu bwabwe.

Senkagale wa FDC Patrick Amuriat, yategeeza nga bwebasimbyewo Emmanuel Eratunga agamba nti tebasobola kuwagira Alice Alaso eyadduka mu FDC

Akakiiko k’ebyokulonda kaateekawo nga February 23, 2023 ng’olunaku lw’okuddamu okulonda mu Serere county.

Ekifo kino kyasigala kikalu oluvannyuma lw’omubaka Patrick Okabe okufiira mu kabenje.