Amawulire

Aba NUP bagenda mu kkooti ensonga za kulonda kwa EALA

Aba NUP bagenda mu kkooti ensonga za kulonda kwa EALA

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Oluvanyuma lwaboludda oluvuganya gavt mu palamenti okulemererwa okukanya kubebalina okuwagira mu lwokaano lwa banakikirira Uganda mu palamenti ya East Africa, wiiki ewedde, leero bevumbye akafubo okulaba ekidako.

Newankubadde nga ebibiina ebirala ebivuganya gavumenti okuli FDC, DP, UPC, JEEMA ne PPP byasimbawo abantu babwe mu kuvuganya kuno, ekibiina kya NUP kikuumye ekifo kyakyo eky’obuteetaba mu kulonda kuno era kigamba kigenda mu kkooti.

Bw’abadde ayogera eri bannamawulire oluvannyuma lwensisinkano gyebabaddemu ku palamenti, akulira oludda oluvuganya mu palamenti Mathias Mpuuga akakasizza nti bannakibiina kya NUP abasinga obungi mu kibinja ky’oludda oluvuganya tebagenda kulabikako ku palamenti ku lunaku lw’okulonda oba n’okunoonya akalulu eri abo abavuganya 28