Amawulire

Aba NRM bakyabanjibwa

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

NRM CEC agrees

Nga wasigaddeyo mbale ttabamiruka wa NRM atuuke, ekibiina kino tekinnasasula bbanja lya bukadde 188 ezibabanjibwa abe Namboole.

Omwezo oguwedde, akakiiko ka palamenti akakola ku bitongole bya gavumenti kalagira NRM okusasula abe Namboole olw’olutuula lwebaalina mu mwaka 2010.

Amyuka omuwanika wa NRM, Singh Katongole agamba nti ekibiina kikyetegereza okulaba ddala oba bakibanja ssente mmeka olwo balyooke basasula

Katongole agamba nti ekibiina kyakuvaayo n’embalirira yaakyo ey’abantu omutwalo omulamba mu bbanga ttono ddala.