Amawulire

Aba NRM babanjibwa ez’emmere

Aba NRM babanjibwa ez’emmere

Ali Mivule

August 12th, 2015

No comments

 

File Photo: Emeere nga  etekedwa ku meeza

File Photo: Emeere nga etekedwa ku meeza

Waliwo ekibinja ky’abafumbi b’emmere abakubye ekibiina kya NRM mu mbuga z’amateeka lwabutasasulwa.

Bano babanja obukadde 61 olw’okubawa emmere nebabatabasasula

Mu musango oguwaabiddwa mu kkooti ekola ku gy’obusuubuzi, abafumbi b’emmere bano bagamba nti mu mwaka gwa 2014 mu December, baweebwa emirimu okugabula bannakibiina kya NRM 3000 abaali bakungaanidde e Kololo.

Bano beebamu bagamba nti beebafumbira aba NRM abakungaanira mu kisaawe e Namboole.

Okusinziira ku biwandiiko , bano baakoma okuwandiikira aba NRM nga 29 omwezi gw’omukaaga kyokka nga tebalina kyebajjayo

Amyuka omuwandiisi wa kkooti eno Thaddeus Opesen aba NRM abawadde ennaku 15 okwewozaako.