Amawulire

Aba NOTU bagamba nti mu ministry yebyobulamu erjjuddemu entalo

Ivan Ssenabulya

May 1st, 2018

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Ssentebbe owekibiina kyabakozi mu gwanga ekya NOTU Usher Wilson Owere asabye omukulembeze we gwanga, okunogera eddagala ebizibu ebiri mu ministry yebyobulamu.

Owere abadde ayogerera ku mikolo gino, kwekutegeeza president Museveni nti ministry ejjuddemu okulwanagana.

Ono ategezeza nti omukulembeze we gwanga talimbibwa nti buli kimu kiri bulungi, ,wabula amazima gali nti waliwo ebisobye.

Owere avumiridde ekyokuleeta abasawo abakuggu okuva mu gwanga lya Cuba, nti ssi kyekijja okuyamba egwanga.

Ono asabye nti ensimbi ezandikozeseddwa okusasula aba-Cuba zitekebwe mu basawo ba wano, kuba nabo bakozi ate bakugu ekimala.

Wabula presidenti Museveni mu kwanukula ku nsonga eno, agambye nti abasawo bakuno yakikubaganyamu okubagolola ettumba bwebsalawo okusulawo abalwadde nga bediimye.

Mu biralala, ebibaddewo minister owensonga ze bweru we gwanga, omubaka wa Mawogola North Sam Kuteesa agambye nti kimuluma okulaba  nga wakyaliwo  bana-Uganda abatwalibwa e Bunayira okukola ngabaddu.

Wabula ono ategeezeza nga bwebalina entegeka ez’okwogera nabakululira amawanga gano bakaanye ku ngeri gyebagenda okutereezamu enkola yabanna-Uganda abali mu mawanga gano

President nga tanajja eno, asoose kugulawo project yamazzi nga gano gagenda kutabaala mu gombolola ye Mijwala e  Sembabule.

Abantu 150 bebagenda okuweebwa emidaali egibasiima, wabula omukulembeze we gwanga kitegezeddwa nti ye Mukozi omukulu.

Mu bamu ku bawereddwa emidaali, kubaddeko abaddusi abakikirira Uganda mu mizannyo gya Common Wealth Josua Cheptegei, Stella Chesanga nabalala.

Emikolo gyomwaka guno jivugidde ku mubala, “okutumbula omwoyo gwokukola mu bakozi b gavumenti”