Amawulire

Aba NEED bawakanyiza ebbago erikugira abantu ssekinoomu okutwala emisango mu Kkooti

Aba NEED bawakanyiza ebbago erikugira abantu ssekinoomu okutwala emisango mu Kkooti

Ivan Ssenabulya

September 18th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED kiwakanyizza ebbago lyetteeka erigendereddwamu okuwera abantu ssekinoomu okulooba omusango mu kkooti mu Uganda.

Omwezi oguwedde palamenti yakkiriza omubaka wa Busiku County, Paul Akamba, okugenda okuwwumulako asobole okuleeta ebbago lino mu palamenti

Singa ebbago lya Akamba lifuuka etteeka, ssaabawaabi ba gavumenti mu mbeera yonna alina eddembe,okutwala omusango mu kkooti wamu n’ekaliisoliiso wa Gavumenti.

Wabula bw’abadde ayogera eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Rubaga, omwogezi wa NEED, Moses Matovu, agambye nti okuwera abantu okutwala emisango egyobwannanyini mu kkooti kitumbula obutali bwenkanya mu Uganda.

Agambye nti n’okuvunaana abakungu ba gavumenti abanene kijja kuba kizibu kuba bangi balina obuyinza mu ofiisi ezisinga obungi naddala ng’obuli bw’enguzi bukyali mu Uganda.

Kati Matovu asaba ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda law society okuwakanya ebbago lino okuva DPP bwatagenda kubeera mu mbeera ya kuvunaana bakungu ba gavumenti ab’oku ntikko. Mungeri y’emu asabye abantu bonna okusaba ababaka b’ekitundu kyabwe okulaba nga tebayisa bbago lino.