Amawulire

Aba NEED bawagidde Museveni kubya Banka yénsi yonna okusazaamu Obuyambi

Aba NEED bawagidde Museveni kubya Banka yénsi yonna okusazaamu Obuyambi

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya ki National Economic Empowerment Dialogue-NEED kiwagidde pulezidenti Museveni okusalawo nti Uganda tekyetaagisa kwesigama kunsimbi enewole okuva mu Banka y’ensi yonna okukulaakulana.

Kino kiddiridde bbanka eno okulangirira nti egenda kuggyayo ensimbi zaayo mu pulojekiti enkulu ez’enkulaakulana mu ggwanga oluvannyuma lwa Uganda okuyisa n’okussa omukono ku tteeka erirwanyisa ebisiyaga.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina e Rubaga akawungeezi ka leero, omuwanika w’ekibiina mu ggwanga, Charles Bassajja, ategeezezza nti Uganda esobola okweyimirizaawo nga tewali Loans ya Banka y’ensi yonna okuva bwe kiri nti waliwo impact is hardly felt by the local people.
Yagambye nti singa gavumenti ekwata ku nguzi n’ekendeeza ku nsaasaanya yaayo ku by’okwejalabya ssente nnyingi zisobola okutereka okusobola okukola ku nkulaakulana y’eggwanga.
Basajja yagasseeko nti Uganda erina eby’obugagga eby’enjawulo gavumenti mw’esobola okufuna ssente nnyingi okuva mu ggwanga n’ebweru w’eggwanga eziyinza okukozesebwa okutumbula enkulaakulana mu mbeera z’abantu n’ebyenfuna.