Amawulire

Aba NEED basanyikidde ekya Odinga okuyimiriza okwekalakaasa e Kenya

Aba NEED basanyikidde ekya Odinga okuyimiriza okwekalakaasa e Kenya

Ivan Ssenabulya

April 3rd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kuludda oluvuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) kisiimye omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu Kenya Raila Odinga olw’okuyimiriza okwekalakaasa okutaasa eggwanga okuva mu kavuyo.

Omwogezi wa NEED, Moses Matovu ategeezezza Dembe FM, nti wadde Odinga yalina ensonga entuufu lwaki yeekalakaasa wabula ensonga y’okutaasa ebyenfuna byeggwanga eryo obutadobonkana nyo n’abantu ba Kenya nayo nkulu nnyo.

Mungeri y’emu ategeezezza nti n’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika naddala Uganda gandibadde gafuna ensisi y’amaanyi mu by’enfuna singa okwekalakaasa mu kenya kugenda mu maaso.

Omukago omwegatira amawanga agali mu buvanjuba bwa Africa ogwa East Africa community nogwa Igad, gitenderezza Pulezidenti wa Kenya William Ruto n’omukulembeze w’oludda oluvuganya Raila Odinga olw’okukkiriza okutegeka enteeseganya ezigendereddwamu okumalawo okwekalakaasa okumaze wiiki bbiri ku bbeeyi y’ebintu n’ennongoosereza mu by’okulonda.

Olunaku lweggulo, Odinga yategeezezza nti omukago gwe ogwa Azimio la Umoja-One Kenya gwasazizzaamu okwekalakaasa okwabadde kutegekeddwa ku Mmande ng’ayanukula kye yayise ettabi ly’emizeyituuni okuva ewa Pulezidenti Ruto.

Mu kiwandiiko kyafulumizza ku mukutu gwe ogwa Twitter, omuwandiisi omukulu owa Igad, Workneh Gebe-yehu agambye nti ekikolwa ky’abakulembeze bombi kigenda kuyamba “okugonjoola enjawukana ku nsonga z’eggwanga nga bayita mu mirembe n’okukuuma obumu bwa Kenya n’enteekateeka ya ssemateeka”.