Amawulire

Aba NEED basabye ababaka abali ku ludda oluvuganya obutapondooka

Aba NEED basabye ababaka abali ku ludda oluvuganya obutapondooka

Ivan Ssenabulya

November 20th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED kisabye ababaka ba Palamenti abavuganya gavumenti obutafuna kutya ku kutiisatiisiibwa ku bikwata ku keendiimo kaabwe obutakiika mu ntuula za palmenti.

Ababaka bano nga bakulembeddwamu omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Matthias Mpuuga, baatandika bazira entuula za palamenti omwezi oguwedde nga baagala gavumenti ebawe ebyokudamu ku bikolwa ebyókutyoboola eddembe ly’obuntu ebigenda mu maaso mu Uganda naddala ku bakulembeze b’oludda oluvuganya n’abawagizi baabwe.

Wiiki ewedde sipiika wa palamenti Anita Among, yatiisizza okugoba ababaka b’oludda oluvuganya gavumenti abekalakaasa olw’ensonga ezitannagonjoolwa singa babuuka entuula eziwera 15.

Wabula bw’abadde ayogera mu lukung’aana lwa bannamawulire olutuula buli wiiki ku kitebe ky’ekibiina e Rubaga, omwogezi wa NEED, Moses Matovu agambye nti ababaka tebalina kuwuliriza kutiisibwatiisibwa kwonna okw’engeri eno.

Agambye nti sipiika alina kuyamba ababaka bano okusaba eby’okuddamu okuva mu bekikwatako kunsonga ezibaluma.