Amawulire
Aba NEED bagala Gavt ewuliziganye nábalumbaganyi
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kya National Economic Empowerment Dialogue-NEED, kisabye gavumenti okufaayo kubiruma abayekera bwekiba nti ebikolwa byekiyeera byakulinyibwa kunfeete mu ggwanga lino
Omulanga gwa NEED guddiridde bbomu eyasangiddwa ku kkanisa y’omusumba Kayanja olunaku lw’eggulo e Rubaga era songa ne leero poliisi eriko boomu enkolerere gyeteguludde ku Mabiito Business Centre e Nateete mu Divizoni y’e Rubaga ate endala egibwa mu bitundu bye Bunamwaya.
Mu June wa 2023, abayekera ba Allied Defence Forces-ADF baalumba essomero mu disitulikiti y’e Kasese ne batta abantu abasoba mu 40 nga kuliko n’abayizi 38.
Omwogezi wa NEED, Matovu Moses, ategeezezza Dembe FM, nti gavumenti eri mu buyinza emaze emyaka ng’erwanagana n’obulumbaganyi bw’abatujju kyokka kirabika tennafuna ngeri ya lubeerera ya kubukomekereza.
Awadde amagezi nti gavumenti erina okuzza amalala ebbali ewulirize omulumbaganyi by’ayagala okuva lwe balina ensonga zaabwe lwaki balwana ne kigendererwa ekyokulaba nti bannauganda balina obukuumi kuba bangi abafudde buli bulumbaganyi we bubaawo.