Amawulire

Aba NEED bagala Gavt enonyereze kukyasse Jakana Nadduli

Aba NEED bagala Gavt enonyereze kukyasse Jakana Nadduli

Ivan Ssenabulya

October 24th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Mike Sebalu,

Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) basiimye omugenzi Jakana Nadduli, nga bamwogeddeko ng’omuvubuka abadde omugezi.

Jakana Nadduli mutabani w’eyali minisita atalina kifo, Hajji Abdu Nadduli, enkya ya leero aba famire ye bebalangiridde amawulire agokufakwe wabula n’okutuusa kati ekyamuviiriddeko okufa tekinategerekeka.

Bw’abadde ayogera eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina mu Kampala, Pulezidenti wa NEED, Joseph Kabuleta agambye nti, Jakana y’omu ku bavubuka abalina okumanya mu ggwanga aboogera n’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga nga balina okunoonyereza okumala ku bye boogera.

Wabula agamba nti kya nnaku nti eggwanga nga Uganda eritwalibwa okuba erya demokulasiya, abantu bonna abavumirira gavumenti eri mu buyinza obulamu bwabwe bukomekerezebwa mu nnaku. Bwatyo Kabuleta yasabye gavumenti enoonyereze ekyaviiriddeko Jakana okufa.

mungeri yemu Hajji Nadduli ategeezezza nga akabenje mutabani we keyafuna gyebuvuddeko bwekamuviirako okukosebwa natuuka n’okulongosebwa ekyenda.

Agamba nti wadde nga yali agenda atereera, ate abamukwata nebamukolako ebikorwa eby’efujjo bakosa ebiwumdu olwo obulwadde ne budda emabega.