Amawulire

Aba NEED bagala enfuga ya Fedelo ekkomezebwewo mu Uganda

Aba NEED bagala enfuga ya Fedelo ekkomezebwewo mu Uganda

Ivan Ssenabulya

September 11th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) kyagala enfuga ya Federo ekkomezebwewo mu Uganda.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Rubaga olwaleero, omwogezi w’ekibiina kino, Moses Matovu alumiriza okugabanya eby’obugagga mu ggwanga mu ngeri etali ya bwenkanya ky’agamba nti kivirideko ebitundu ebisinga obungi okusigalira emabega.

Asabye akakiiko akavunaanyizibwa ku bwenkanya mu ggwanga aka Equal Opportunities Commission, okuteeka gavumenti ya NRM eri mu buyinza kunninga okulaba ng’ebitundu byonna bifuna akatundu ku keeki y’eggwanga.

Matovu agamba nti kino kijja kusobozesa abakulembeze b’ebitundu okusalawo ekirungi eri abantu baabwe mu nsonga z’embeera z’abantu, n’enkulaakulana mu by’enfuna.

Mungeri y’emu asabye n’akakiiko kóbwenkanya okulagira gavumenti okutereeza akavuyo akali mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo omuli Ebyenjigiriza, Ebyobulamu, amagye ne birala muveemu embeera y’obusosoze mungaba yémirimu.