Amawulire
Aba M23 beralikirivu olw’ebikolobero
Abaali abayeekera mu ggwanga lya Congo kati ab’ekibiina kya M23 beralikirivu olw’ebikolobero ebisusse mu ssaza lye Kivu.
Ssentebe w’ekibiina kino Bertrand Bisimiwa agamba ebigenda mu maaso bisanyawo emirembe abacongo lyebayayanira.
Agamba gavumenti esaanye okulwanyisa abantu abasanjagibwa nga bangi babasalasala, babakuba obukumbi ku mitwe n’obubazzi n’okuwamba abantu naddala mu kibuga kye Goma.
Basimwa era agamba enjuyi zonna ezilwanaga zisanye okukwatagana bakomye okuyiwa omusaayi mu ggwanga lino.