Amawulire

Aba KACITA bakubiriza abasuubuzi obuteetaba mu kwekalakaasa olunaku olwénkya

Aba KACITA bakubiriza abasuubuzi obuteetaba mu kwekalakaasa olunaku olwénkya

Ivan Ssenabulya

June 26th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekigatta abasuubuzi mu ggwanga ekya Kampala City Traders Association-KACITA, kisabye bammemba baakyo okwetoloola eggwanga obutenyigira mu kwekalakaasa okutegekeddwa nga bawakanya emisolo emingi.

Enkya ya leero wabaddewo ekiwandiiko ekisaasaanyiziddwa ku mikutu gya yintaneeti nga kisaba Abasuubuzi okwenyigira mu kwekalakaasa okw’emirembe enkya nga 27th June, nga baggalawo amaduuka gaabwe nga bawakanya omusolo omungi, ebyamaguzi by’abasuubuzi ebiboyebwa ne bitabaddizibwa kitongole ekiwooza kyó musolo, ssente z’okupangisa eziri waggulu n’ebirala.

Wabula ssentebe wa KACITA, Thaddeus Musoke Nagenda ategeezezza Dembe FM nti wadde bakkirizza okusoomoozebwa kw’abasuubuzi, ekibiina kino si kitundu ku kwekalakaasa kubanga akawungeezi ka leero balina ensisikano ne kaminsona omukulu ow’ekitongole ky’emisolo ekya Uganda Revenue Authority, John Musinguzi, ku nsonga ze zimu.

Agamba nti ekibiina kino kigenda kulangirira wekiyimiridde ku kwekalakaasa okutegekeddwa oluvannyuma lw’ebinaava mu lukiiko.

Akubiriza bammemba baabwe okubeera abakkakkamu nga bwe banoonya okuteesa ne URA balabe nti ensonga zabwe zigonjoolwa.