Amawulire

Aba JEEMA ne FDC bakyagaanye okukaanya

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Aba FDC ne JEEMA bakyezooba ku muntu ki omuntu omu okuwagira ku kiffo kyomubaka owa munispaali ye Bugiri.

Kinajukirwa nti okulonda kulimu abavuganya government 2 okuli Eunic Namatende owa FDC ne Assuman Basalirwa owa Jeema.

Kati mu nsisinkano bano gyebabade nayo mu kampala, eyali president wa Jeema Husein Kyanjo ategeezezza nga FDC bwerina okukakanya omuntu waayo ave mu lwokaano kuba bebalina obuwagizi.

Kyanjo agamba nti tekikola makulu abantu 2 abavuganya government okutandika okulwanagana, nga bagwana bakaanye.

Mu balala aboogedde ye mubaka we Mukono Betty Namboozo, ngono asabye bonna abavuganya obutagezaako kusika mugwa.

Nambooze agamba  nti situgaanye enzikiriziganya ekyagaanye okutuukibwako, naye tebalina kuyomba.