Amawulire

Aba FUFA batanzizza Kasingye obukadde 2 n’ekitundu

Aba FUFA batanzizza Kasingye obukadde 2 n’ekitundu

Ivan Ssenabulya

March 4th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga, FUFA okuyita mu kakiiko akakwasisa empisa basalidde ssentebbe wa tiimu ya Police FC Asan Kasingye engasi ya bukadde 2 nekitundu olwokumenya amateeka gomuzannyo.

Kino kyadiridde Kasinye okuyita ku mitimbagano, nalumiriza ba difiri obwa kyekubiira ku mupiira Vipers gwebabakuba goolo3-2 ogwaliwo nga 19 February.

Kasingye yayita ku twitter nalumiriza nti Vipers balabika bagula ba difiri.

Mu kusooka Kasingye, era yekandagga ku mupiira ogwo nayingira mu kisaawe oluvanyuma lwa goalkeeper waabwe Derrick Ochan okuweebwa kaadi emyufu.

Kati akakiiko akakwasisa empis katunudde mu nonga zino, era bamulagidde asasule engasi eyo mu nnaku 30.

Kati bamulabudde nti ssinga anagezaako okuddamu okweyisa mungeri etagwanidde, bamumukaliga emyezi 6 nga teyetaba mu kintu kyonna ekikwatagana n’omupiira mu gwanga oba ne bweru.