Amawulire

Aba FDC bemulugunyiza okwa abakuuma ddembe okubalemesa okukola emirimu gyabwe

Aba FDC bemulugunyiza okwa abakuuma ddembe okubalemesa okukola emirimu gyabwe

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Forum for Democratic Change kivumiridde amagye okugenda mu maaso n’okuyingirira emirimu gy’ekibiina kino.

Kino kiddiridde nga 6th October poliisi okulemesa pulezidenti wa FDC, Patrick Amuriat n’abakulembeze b’ekibiina abalala okutuusa obuyambi eri abantu abaakosebwa amataba e Kasese, nga bagamba nti baali tebasabye lukusa okuva mu kakiiko ka disitulikiti akakola ku bigwa bitalaze.

Wabula omwogezi wa FDC era nga ye mubaka wa Kira Munisipaali, Ibrahim Ssemujju Nganda agamba nti kifuuse nkola ebitongole byebyokwerinda okulemesa abavuganya nga bakola obuweereza eri abantu kyokka nga tebasobola kwesiga bukiiko bwo kutuusa buyambi bwabwe.

Alumiriza nti omwaka oguwedde ekibiina kyatuusa emmere nga kiyita mu kakiiko kyokka teyatuuka eri abalina okugifuna ate oluusi badamu ne basiba etereke ebiweeredwayo nga balaga nti bivudde mu  ofiisi ya Ssaabaminisita, newankubadde gavumenti bino yabiwakanya.