Amawulire

Aba FDC bategese okwogera okwabwe eri egwanga

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye, Ivan Ssenabulya ne Sam Ssebuliba

File Photo: Museveni nga ayogera

Olwaleero egwanga lilindiridde okwogera kwomukulembeze we gwanga.

Kati president Yoweri Museveni asabiddwa okutegeeza egwanga ku bisubizo byeyakola omwaka oguwedde.

Kinajjukirwa nti bweyali ayogerako eri egwnaga omwaka oguwedde yasubiza okulwanyisa ebbula lyemirimu, okutondawo obugagga, ate nokunyweza ebyokwerinda nensonga endala njolo.

Wabula munabyanfuna Ramadan Goobi, zino zempagi okutambulira ebeynfuna bye gwanga kalenga omukulembeze we gwanga nate yandibadde alaga watuuse.

Bbo abekibiina kya FDC balangiridde nti bagenda kubeera nokwogera okwabwe ku bintu ebiruma banan-Uganda wano na wali.

Okusinziira ku president wekibiinaPatrick Amuriate Oboi, waddenga presidenti Museveni abaddenga ayogera eri egwnaga buli mwaka naye tayogera ku bimulemye, nokulaga engeri yokubinogera eddagala.

Ono agambye nti bagenda kwogera ku mbeera yebyenfuna.

Yye minister owa gavumenti ezebintundu mu gavumenti eyekisikirize ayambalidde gavumenti olwokulagajjalira ensonga eziruma bann-Uganda.

Buno bwebumu ku bubaka obukulembeddemu okwogera kwomukulembeze we gwanga okusubirwa akawungeezi ka leero.]

Betty Nambooze bwabadde ayogerako naffe agambye nti waddenga kabaddi kalombolombo omukulembeze we gwanga, okwogherangako eri egwanga tewali biruma banatu bisimbiddwako mannyo era nebikolebwako.

Ono agambye nti tajja kwetaba mu kwogera kwa mukulembeze nemu kusoma embalirira ye gwanga.