Amawulire
Aba FDC basisinkanye ku byokulonda
Ba agenti b’ababiri abesimbyewo okukwatira ekibiina kya FDC bendera ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga bakusisinkanamu akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina okwetegereza enkalala z’abakungu nga ttabamiruka w’ekibiina tanategekebwa okuva nga 1-2 September.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kya FDC Dan Mugarura ategezezza nga bwebalina abakungu b’ekibiina abasoba mu 1000 abalina okwekenenyezebwa enjuyi zombi.
Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu ne gweyaddira mu bigere Dr Kiiza Besigye bakyagenda mu maaso n’okutalaaga eggwanga nga bawenja akalulu k’okukwatira ekibiina bendera.