Amawulire

Aba FDC basabye Govt eyimirize ebyókugabira ababaka obukadde 200 ezémotoka

Aba FDC basabye Govt eyimirize ebyókugabira ababaka obukadde 200 ezémotoka

Ivan Ssenabulya

July 26th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye

Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya FDC basabye gavumenti eyimirize emirimu gy’okugabira ababaka ssente obukadde 200, eri buli mubaka okugula emmotoka.

Gavumeni yafulumya ssente zino, nga buli mubaka wakuweebwa obukadde 200 ababaka bonna 529 okusobola okubanguyiza emirimu gyabwe.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku kitebbe kyekibiina e Nakjanankumbi, omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti entekateeka eno esaanye ejibwewo.

Bawabudde nti gavumenti bano ebaterewo enkola nga basobola okwewaola nebagula mmotoka zebagala nebasasaula oluvanyuma, kubanga bakozi ba gavumenti ngabalala era basasulwa omusaala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *