Amawulire

Aba FDC balumbye Museveni kunsimbi za Parish Model

Aba FDC balumbye Museveni kunsimbi za Parish Model

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ekibiina kye byobufuzi ekya FDC kilumbye omukulembeze weggwanga YK Museveni olwokusaba palamenti eyise akasse kalamba akensimbi ziyambe mu kuvujirira entekateka ye eyokukulakulanya emiruka emanyiddwa nga parish development model

Bweyabadde asisinkanye ababaka ba palamenti abakabondo ka NRM ku kisaawe e Kololo Museveni yasaba ababaka bano okuwagira entekateka eno obulungi.

Wabula mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina e Najjanankumbi, omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda alabudde ababaka ba NRM ne palamenti okutwaliza awamu obutagezako kwononoona nsimbi za muwi wa musolo mu bintu ebitatekeddwatekeddwa bulungi

Ssemujju, agamba nti eggwanga terinasimatuka bufere obweyorekera mu pulogulamu ye Emyooga kyokka kyewunyisa okulaba nti pulezidenti avudeyo ne ntekateka endala.