Amawulire

Aba FDC bakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo

Aba FDC bakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo

Ali Mivule

January 14th, 2016

No comments

File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye

File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye

Ab’ekibiina kya FDC beekubye endobo nga kati bakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa eri abo bonna abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga.

Omwogezi wa FDC Ibrahim Semujju Nganda agamba nti baliko enkiiko zebatuddemu n’abategese  okubaganya ebirowooza era nga bakkirizza nti Besigye agende abeewo.

Besigye yali yakomba kw’erima nti tajja kuteesa nga Museveni taliiwo.

Wabula Ssemuju agambye nti n’abantu bangi ababadde babasaba nti beetabe mu kukubaganya ebirowoozo kuno.

Ab’ekibiina kya NRM bawandiikidde akakiiko akataba bannaddiini nga bakakasa nti ssi bbo ssi bakubaawo.

Amyuka omwogezi w’ekibiina kino Ofwono Opondo agamba nti ssabawandiisi w’ekibiina Lumumba amaze okutwalayo ebbaluwa eraga nti balina kubeera mu bantu olunaku lw’enkya

Wabula yye ssabawandiisi w’akakiiko akataba bannaddiini Joshua Kitakule alemeddeko nti tebannaba kufuna bbaluwa eno era basuubira abesimbyeewo omunaana.