Amawulire

Aba FDC bakuwandiisa Paul Mwiri olwe’nkya

Ivan Ssenabulya

February 12th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abekibiina kya FDC olunnaku olwenkya bagenda kuwandiisa omuntu waabwe Paul Mwiru okuddamu okuvuganya nate ku bubaka bwa palamenti.

Kino kyadirira kooti ejjulirwamu okusazaamu okulondebwa kwa munna-NRM Nathan Igeme Nabeeta ngomubaka wa Jinja East palamenti era ekiffo kinop nekisgala nga kikalu.

Omwogezi wekibiina Ibrahim Semujju Nganda, asisnzidde mu lutuulwa lwabanamwulire olwa buli Bbalaza nategeeza nti Paul Mwiru eyakwatira ekibiina bendera, era eyali omubaka obululu bwe bwabbibwa, kalenga bagenda kumusindika nate avuganye.

Okuloda okwe nvunula-bibya kwakubaawo nga 15th March 2018.