Amawulire

Aba FDC bagala okuwandiisa butto okwabakyala

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Ekiwayi kyabakyala mu kibiina kya Forum for Democratic Change kyambalidde akakiiko kebyokulonda olwobutaddamu butto kuwandiisa abanavuganya ku bukiiko bwabakyala.

Mu ntekateeka empya akakiiko kebyokulonda kalangiridde nti okunonya obululu okwobukiiko kwabakyala kwekujja okubaawo, okutandika nga 29th June okutukira ddala nga 2nd July ate okulonda kubeewo nga 3rd July.

Okusinziira ku Sarah Eperu omwogezi wabakyala mu FDC kino ssi kyabwenkanya, eri abwala abatto abandyagadde okuvuganya ku biffo bino.

Wabula ssentebbe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi Simon Byabaka yategeeza nti bakuwa omukisa abalonzi abappya, wabula nga ssi bakuwandiisa abanavuganya abappya mu byalo epippya 1,134 ebyatondebwawo mu 2017/18.