Amawulire

Aba FDC bagala gavt ewe obuyambi disitulikiti zeyatadde ku muggalo

Aba FDC bagala gavt ewe obuyambi disitulikiti zeyatadde ku muggalo

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Forum for Democratic Change (FDC) kisabye gavumenti okuvaayo n’okudduukirira abantu b’e Mubende ne Kasanda abali ku muggalo.

Pulezidenti Museveni ku Lwomukaaga yataddewo omuggalo ogw’ennaku 21 ku disitulikiti z’omu masekkati ga Uganda okuli Mubende ne Kassanda okusobola okuziyiza ekirwadde kya Ebola okusasaana nga kino kyakatta abantu 19 bukya kibalukawo.

Ng’ayogera eri bannamawulire ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi, amyuka omwogezi w’ekibiina kino John Kigonyogo, agamba nti nga bwekyali mu kiseera kya Covid-19, abantu bano balina okudukirirwa.

Kigonyogo agamba nti ekibiina sikimativu n’engeri gavumenti gy’ekutemu ekirwadde kya Ebola.

Agamba nti Gavumenti yalina okuzuula n’okusiba ebyalo ebiri mu Mityana ne Kasanda ebirimu Ebola okwawukanako n’okulinda ekirwadde kino okusaasaana mu Disitulikiti zonna.

Ono era asabye gavumenti eyongere ku nsimbi zeyafulumya mu kulwanyisa ekirwadde kino.