Amawulire

Aba EC batangaziza ku bukulembeze bwa NUP obutuufu

Aba EC batangaziza ku bukulembeze bwa NUP obutuufu

Ivan Ssenabulya

June 22nd, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Akakiiko k’ebyokulonda katangazizza ku bukulembeze obutuufu obw’ekibiina kya National Unity Platform (NUP).

Endoliito mu kibiina zzatusse oluvanyuma lwa Moses Kibalama omutandisi w’ekibiina kino ne Paul Simbwa okuggulawo wofiisi yekibiina e Rubaga, gyebagamba nti webagenda okutuula era ky’ekibiina ekituufu songa ne kitebe e Kamwokya gyekiri kikakalabya mirimu gya kibiina kye kimu.

Wabula mu bbaluwa gyebawandikide Kibalama, omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda Leonard Mulekwa, agambye nti obukulembeze bwebamanyi mu kiseera kino bwebwa Robert Kyagulanyi Ssentemu ngamyukibwa Dr. Lina Zedrige n’abalala.

Kino bakyesigamizza ku tabamiruka eyatuula, Kibalama nalekulira era nebakyusa obukulembeze, okusinziira ku alipoota zebawaayo mu kakiiko k’ebyokulonda.

Kibalama ne banne babadde banenya Kyagulanyi okumenya andagaano zebakola bwebaali bamukwasa obukulembeze bwe kibiina kya NUP.