Amawulire

Aba DP sibasanyufu kundagaano yémmwanyi Gavt gyeyakoze ne Musiga nsimbi

Aba DP sibasanyufu kundagaano yémmwanyi Gavt gyeyakoze ne Musiga nsimbi

Ivan Ssenabulya

April 19th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party sikisanyufu kundagaano ye mmwanyi gavt gyeyakoze ne musiga nsimbi okuva mu ggwanga lya Italy.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, nampala wa DPmu palamenti Richard Lumu, agambye nti endagaano eno teyakoledwa mu mutima gwa kuyamba bannauganda kuba nabamu kubakwatiko ensonga ze mmwanyi mu ggwanga tebeebuzibwako.

Ono agamba nti kano kabonero kannukunala nti waliwo olukwe olwokwagala okubba emmwanyi za bannauganda abalimi baleme kuganyulwa

DP era simativu kungeri musiga nsimbi  , Enrica pinetti gyeyasonyiyiddwamu emisolo gyonna gyabadde alina okusasula kye bagamba nti si kyabwenkanya kuba bamusiga nsimbi abawano bbo tebasonyibwa misolo gino.

Mungeri yemu Lumu agamba nti Uganda engeri gyeyesigamye nyo kummwanyi ngekyetunzi gavt yabadde terina kulekera musiga nsimbi Pinette lukusa lwonna ku mwwanyi zino omuli okuzilongoosa, nokuzitunda ebweru.