Amawulire

Aba DP nabo baweereza Obubaka obukubagiza ku kufa kwa Bakyenga

Aba DP nabo baweereza Obubaka obukubagiza ku kufa kwa Bakyenga

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party kiweereza okusaasira okuva ku mutima eri Eklezia Katolika mu Uganda olw’okufa kwa Ssaabasumba ow’e Mbarara, Paul Bakyenga.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina mu Kampala, Ssaabawandiisi wa DP, Gerald Siranda yasiimye omugenzi nga munnadiini omuvumu eyalwanirira eddembe ly’obuntu mu kiseera ky’obukulembeze bwe.

Yagambye nti Bakyenga agenda kujjukirwa ng’ekimu ku bigo ebyasindiikiriza ebyobufuzi eby’ebibiina ebingi mu Uganda.

Siranda akubirizza abakulembeze b’eddiini n’abakkiriza abasigaddewo okukoppa omugenzi nga bagoberera ebigambo byonna eby’amagezi bye yayogera mu kiseera ky’obuweerezabwe.

Bakyenga eyali Ssaabalabirizi w’e Mbarara okuva nga January 2, 1999 okutuuka nga April 25, 2020 afudde enkya ya leero mu ddwaaliro e Nsambya ku myaka 79.